Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Ssekukulu n’omwaka omuggya

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obwagaliza abantu be amazaalibwa g’omulokozi ag’essanyu n’omwaka omuggya ogw’emirembe n’ebyengera. Omutanda mu bubaka bwe asabye abakulembeze okwekuba mu mitima ku ngeri obuweereza gyebutuukamu eri bantu.
Ssaabafumbo agambye nti ekiremesezza emirembe okubukala mu nsi yaffe, be bantu okwefaako bokka, okwekkusa, omulugube, obutatuukiriza bisuubizo wamu n’obutawa kitiibwa nfuga egoberera mateeka.
Leave a Reply