Obubbi bw’amabaati bwalimu ekkobaane – Katikkiro Mayiga

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo nategeeza nti obubbi bw’amabaati bw’abaddemu ekkobaane. Ono agamba nti wadde nga Yuganda eyagala okugenda mu lubu lw’amawanga agali yadde yaddeko naye tekisoboka ng’ebitongole bya Gavumenti byonna bijjuddemu obulyake. Ayongeddeko nti enkola eya Federo yokka yeesobola okumalawo emivuyo era singa ebaddewo Abakaramoja bandironzeewo oba nga baagala mazzi oba mabaati era bandibadde baganyulwa butereevu mu by’obugagga byabwe.
Ono asabye Bannayuganda bongere okwefumiitiriza ku nkola ya Federo okumalawo ebizibu kuba tewali nsonga lwaki ekitundu nga Karamoja tekyekolera ku bizibu byakyo ng’ate kyekisinga okubimanya okusinga omuntu omulala yenna.
Leave a Reply