Obuganda butenderezza emirimu gya Omumbejja Muggale

Namungi w’omuntu omuli abooluganda, abako n’abemikwano gy’omumbejja Beatrice Juliana Muggale eyaseerera ku lwokutaano lwa ssabbiiti ewedde,  enkya ya leero bakungaanidde ku Lutikko e Namirembe okusabira omwoyo gwe .

Omumbejja Muggale muwala wa Ssekabaka Daudi Chwa azaala Ssekabaka Muteesa II so nga Muteesa II y’azaala Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ekyo nno nekitegeeza nti omugenzi abadde Ssenga wa Kabaka Mutebi.

Mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II obusomeddwa Nnaalinya Dinah Kigga, Omuteregga ayogedde ku Mumbejja nga omuntu eyagatta  ennyo abantu b’obwakabaka ate n’okubuwabula mu bintu ebitali bimu.

Ate ye Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo gwegumu n’atendereza obuweereza bw’omumbejja era n’agamba nti ono ekiseera kyonna abadde ku lusegere lwa Ssaabasajja Kabaka Magulunnyondo .

Leave a Reply