Obukadde omunaana okugula emmese emu si kikulu nnyo – Dr. Musenero

Byampuna!

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssayansi ne tekinologiya Dr Monica Musenero yategeezezza Ababaka ba palamenti abanoonyereze ku bigambibwa nti yezibika ensimbi za Gavumenti ezateekebwawo okuyamba Yuganda okukola eddagala erigema ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe lumiimamawuggwe owa COVID-19. Ono agamba nti ensimbi obukadde 8 ezigenda okugula buli mmese ey’okugezesebwako eddagala erigema Covid-19 nga bweziri entono ennyo, ezitasaanye kusasamaza bantu kuba zino emmese zanjawulo nnyo.

Obukadde asatu mu bubiri bwebugenda okukozesebwa okugula emmese 4 okuva mu Ggwanga lya Amerika.

Dr Musenero alumirizibwa omubaka Yona Musinguzi okubulankanya obuwumbi 31 mu kugezaako okukola eddagala erivumula ekirwadde ki Covid-19.

Leave a Reply