Ssaabaduumizi wa Police General Kale Kayihura asabye Gavumenti okufuba okulaba nga eteekateeka okulonda obukiiko bwa ba Ssentebe b’ebyalo nga omu ku kaweefube ow’okwongera okunyweza eby’okwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo .
Ekisanja ky’abantu bano kyaggwako emyaka kkumi emabega naye nga Gavumenti yeesuuliddeyo gwa nnaggamba okuteekateeka okulonda okuggya nga yeekwasa nga bwewatali nsimbi .
Wabula General Kayihura agamba nti obukiiko bw’ebyalo bwakolanga omulimu munene nnyo okwongera okunyweza eby’okwerinda yensonga lwaki bwetaagibwa bunnambiro .
Bino Ssaabaduumizi wa Police abituuseeko bw’abadde ng’ayogerako n’abatuuze b’e Kabowa ekisangibwa mu Municipaali ey’e Rubaga, bw’abadde atongoza enteekateeka eyitiddwa Neighbourhood Watch nga balonze obukiiko bw’ebyalo okwongera okunyweza eby’okwerinda ne baweebwa n’ekitundu mwebagenda okukakkalabiza .