Obulabirizi bw’e Mukono buwadde Omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze amagezi alage byakoze

Obulabirizi bw’e Mukono buwadde Omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze amagezi alage byakoze mu myaaka entaano gyamaze mu Palamenti okusinga okuwalampa omulabirizi.

Kidiridde olutalo lw’ebigambo olubaluseewo wakati w’obulabirizi bw’e Mukono n’omubaka wa Palamenti Betty Nambooze, nga ono alumiriza Obulabiriza bw’e Mukono okwekobaana ne Meeya Kagimu ne batunda etakka ly’amasomero ga Bishops okuli Bishop West, East ne Central.

Obulabiirizi nga bukulembedwamu Rev. Canon John Ssebudde wamu ne Munnamateeka waabwo bayise olukungaana lwa Bannamawulire okusobola okutangaaza ensi ku bigambo by’omubaka Nambooze.

Gye buvuddeko Omubaka Nambooze nga ayogerako ne bakansala aba National Unity Platform – NUP  yavayo nategeeza nga Municipality n’obulabirizi bwe bakola olukujukuju ne bezza amasomero ga Gavumenti n’ekigenderewa ky’okugasanyawo nga batunda etakka lyaago.

Musoke Ronald nga ye puliida w’obulabirizi ategeezezza nga bwe basazewo okulimbulula obulimba bw’omubaka Nambooze bwaze akola ku bulabirizi era alabude singa Nambooze teyekomako na kalebule we bakumuwalawala okutuuka mu kooti.

John Sebude omuwandiisi w’obulabirizi we Mukono ategezeza nga bwe bali abenyamivu okulaba nga Nambooze okutuuka okujolonga omulabirizi James William Ssebagala nga amubbisa etakka, kubanga obulabirizi tebulina buzibu naye.

Leave a Reply