Minisitule evunaanyizibwa ku by’obulamu erangiridde erangiridde nti wabaluseewo obulwadde bw’olukusense mu Disitulikiti y’e Kamuli ne Kamwenge.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisitule eno ekya ya leero kyoleka nga ekirwadde ky’olukusense kikasiddwa nti ekirwadde kino kirabiseeko mu Disitulikiti y’e Kamwenge mu bugwa njuba ne Kamuli mu buva njuba era nga obulwadde buno buzuuliddwa mu baana abali wakati w’emyaka 5 ne 14 mu magombolola omuli; Butandise, Nawanago, Balawoli, Nabwigulu ne mu Municipali y’e Kamuli.
Okubalukawo kw’obulwadde buno e Kamwenge kwogerwako nti kyaliba nga kivudde ku banoonyi b’obubudamo abeeyiye mu ggwanga lyattu Yuganda okuva mu Democratic Republic eya Congo n’ebidiini oby’obwewussa ebirobera abantu okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi .
Olukusese lusinga kukosa bitundi eby’okussa n’okuleeta omusujja ogwamaanyi wamu n’okusesema era ky’ekimu ku bisinga okutta abaana abato abali eyo mu 114900 mu nsi yonna okusinziira ku bibalo by’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu .
Abatwala Minisitule bagamba nti basitukiddemu nga eyatega ogw’ekyayi okutangira ekirwadde kino okweyongera era nebasaba abantu okutegeeza abavunaanyizibwa ku by’obulamu amangu ddala nga balabye embeera eno .