Obunkenke, Abavubuka 23 bawambiddwa – Yumbe

Obunkenke bweyongedde mu bitundu bye Yumbe oluvannyuma lw’abavubuka 23 okuwambibwa abantu abatannategeerekeka.

Ayogerera Police mu ggwanga Fred Enanga agamba nti bafunye amawulire nti abaawambye abavubuka bano baabadde bambadde ebyambalo ebyefaanaanyirizaako ebya magye era nga Kiteeberezebwa nti batwaliddwa mu bitundu eby’amaserengeta ga Susan ey’amaserengeta. Songa ate kuliko n’abalala babiri abattiddwa.

Enanga agamba nti Police yatandise dda kaweefube w’okuyigga abavubuka bano  .

Leave a Reply