Ebikolwa eby'obutabaguko mu maka byeyongedde obungi e Mubende nga kati byeraliikirizza abavunaanyizibwa ku mbeera z'abantu byabagamba nti bivudde ku bwavu obususse ennyo mu bantu.
Maria Ndagire akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z'abantu mu Disitulikiti y'e Mubende agamba nti mu bbanga ery'emyezi omukaaga bafunye emisango lukaaga ataano mu etaano (655) egy'obutabanguko mu maka mu Disitulikiti y'e Mubende yokka.
Ndagire agasseeko nti obuzibu businze kuva ku bwavu obususse obungi e Mubende, abaana baafumbirwa tebanneetuuka, obutasoma, ebbula ly'emirimu kw'ogatta n'amawanga amagatte agali mu Mubende.