Obutimba obubalirirwamu ssilingi obukadde nga bisatu n’omusobyo n’amaato byebiteekeddwa omuliro oluvannyuma lw’ekiwendo ekirwanyisa envuba embi ekikoleddwa ku nnyanja Nalubaale mu Disitulikiti y’e Mpigi.
EKikwekweto kino kikoleddwa ku myalo musanvu egyogerwako nti ebadde mpuku ya nvuba mbi era amaato n’obutimba nebikwatibwa ggwe wamma nebiteekerwa nabbambula w’omuliro .
Omusasi waffe Aloysius Ssengendo yaatutuusizzaako eggulire lino.