Ekitongole kya Dwelling Places nga kiri wamu n’obwakabaka bwa Buganda kinnyikizza kaweefube w’okulwanyisa okukukusa abaana wamu n’okulaba nga bakuumibwa bulungi.
Ku mulundi guno kaweefube ono bamuyisizza mu baami b’amasaza olwokuba nga balina obusobozi okutuuka ku bantu okubategeeza akabi akali mu kutwala omwana ebweru akube ekyeyo nga ayita mu makubo agatali malambulukufu.
Minisita w’eby’enkulaakulana y’abantu, ebyenjigiriza, eby’obulamu, n’ensonga za woofiisi ya Nnabagereka, Dr. Prosperous Nankindu, bwabadde aggulawo omusomo ku kukuuma abaana n’okukomya okukukusa abaana mu Masaza ga Buganda, ogwategekeddwa okubangula abaami b’amasaza n’abamyuka baabwe, asabye abaami b’amasaza bagende banoonyereze bazuule amakubo mu Masaza gaabwe agayitibwamu okukukusa abaana, basuule enkessi bamanye abantu abakukusa abaana. Agasseeko nti abaami b’amasaza balina eddoboozi ddene mu bitundu byebakulembera era bakozese eddoboozi lino okwogera ku nsonga z’abaana.
Okusinziira ku Owekitiibwa Nankindu, “okunoonyereza kulaga nti abaganda ffe tusinza abaana ku nguudo mu kampala, ffetusinza abaana abali ku byeyo ebitali birambike, era ffetusinza abaana abali mu kwetunda”. Mukwatagane nabebyokwerinda tutaase omwana wa buganda okwonooneka.