Obwakabaka bukungubagidde Omumbejja Annette Nakalema olw’emirimu gyakoledde Obuganda.

Bino bibadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu Lutikko e Lubaga olwaleero.
Mu bubaka bwatisse Amb. William Matovu, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atenderezza emirimu gya Nakalema naagamba nti akoze kinene nnyo okubunyisa n’okumanyisa enteekateeka z’obwakabaka mu bantu ba Kabaka abali mu America era obuweereza bwe bunajjukirwa nnyo.

Bwo obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga busomeddwa Minisita wa Kabaka ow’okunoonyereza, Owek Sylivia Mazzi. Kamalabyonna agambye nti obuweereza bwa Nakalema bunajjukirwanga naddala bweyali nga akyakolera ku kitebe kya America, mu nkungaana za Buganda Bumu, wamu n’emirimu gyeyakola ng’omutandisi w’ekibiina kya Essuubi Lya Buganda Katikkiro kyeyayogerako mu kitabo kye King On the Throne.

Ye Minisita w’amawulire, Abagenyi Era Omwogezi w’obwakabaka, ate nga wa Luganda lw’omugenzi, Owek Noah Kiyimba, yeebazizza Omumbejja Nakalema olw’okufuba ennyo okulabirira wamu n’okujjanjaba Maama we era amulese alabika bulungi naagamba nti abantu bangi bafuna okusoomoozebwa okw’okulabirira bakadde baabwe. Amwebazizza okukuza obulungi abaana nga balina empisa naagamba nti ensangi zino abazadde bateekerateekera baana mu kifo ky’okubateekateeka. Mu ngeri yeemu, Owek Kiyimba asomye obubaka obuvudde mu bantu ab’enjawulo omuli n’obuvudde mu Bukama bwe Bunyoro, obuvudde ew’omubaka wa Kabaka e Boston omulongo Kato Kajubi.

Leave a Reply