Obwakabaka bukungubagidde Oweek Arthur Bagunywa.

Obuganda bukungubagidde omugenzi Oweek Arthur Bagunywa mu kusaba okubadde mu Lutikko e Namirembe.

Maama Nnabagereka, Namasole, Ssaabaganzi, Abalangira n’abambejja, Baminisita ba Kabaka, Omukubiriza w’olukiiko lwa Patrick Luwagga Mugumbule, ba Katikkiro abaawummula, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda eyawummula, Owek Nelson Kawalya, ne Baminisita abaawummula beetebye mu kusaba kuno.

Obubaka bwa Kabaka busomeddwa omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu ne tekinologiya Prof. Twaha Kigongo Kaawaase. Ssaabasajja asiimye Owek Arthur Bagunywa olw’okutumbula olulimi oluganda n’okuweereza obwakabaka bwe.
Obubaka bwa Katikkiro busomeddwa omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Minisita w’eby’ensimbi mu bwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa. Katikkiro yeebazizza nnyo Owek Bagunywa olw’okumuwabulanga ku nsonga z’olulimi oluganda wamu ne mu nsonga z’obwakabaka ez’enjawulo.

Oweek Arthur Bagunywa yaliko Minisita wa Kabaka, Omubaka wa parliament akiikirira Mityana South, yaweerezaako mu kitongole Kya UNESCO, abadde munna Rotary, era yeyatandikawo ekibiina kya Uganda Land Owners Association.

Leave a Reply