Obwakabaka busabye ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority okuzza Uganda mu kibiina ekigatta abatunzi b’Emmwanyi mu nsi yonna.
Okusinziira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, ekibiina kiyina emiganyulo mingi, era Uganda bwevaamu abasubuzi bangi bayinza okuwandulwa.
Wabula awadde amagezi ku kirina okukolebwa, omuli okuteekawo abalimisa abasobola okuwa abalimi amagezi ag’ekikugu, abalimi betaaga okufuna ebikozesebwa ebituufu mu kulima emmwanyi, okulwanyisa eddagala effu ku katale, okunoonyereza ku kirwadde ekiruma emmwanyi. Akubirizza abantu balemere ku kulima emmwanyi nebwezinaaba ku bbeeyi eya wansi kubanga akatale k’ensi yonna kakyazetaaga.
Bino Katikkiro abyogeredde ku Bulange bwabadde atongoza enkola ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka guno 2022.
Ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority kyawanduukulula Uganda mu kibiina ekigatta ensi ezitunda emmwanyi olw’ensonga ezitali nambulukufu.
Katikkiro ategeezeza nti okuva kaweefube w’Emmwanyi Terimba yatandika, omuwendo gwe Mmwanyi Uganda zetunda gweyongera ebitundu 30%.