Obwakabaka bwakwongera okutalaaga ebitundu byegwanga okulambula abntu ba ssabasajja abalina kebeekoledde naddala nga bayita mubulimi n’obulunzi okufunayo amagezi gebaneeyambisa okusomesa abantu b’omutanda okwejja mubwavu.
Minisita wa Kabaka omubeezi ow’ebyobulimi, obulunzi, obutale n’obwegassi, Owek Hajji Amis Kakomo asinzidde Ku farm ya Owek Henry Kanyike esangibwa ekiteezi mu Kyadondo nagamba nti abantu nga bano bebagenda okuyambako Buganda okusomesa abalala kunsonga yebyenkulaakulana nga bayita mubyobulimi n’obulunzi.
Owek Kakomo agambye nti obwakabaka buli mukawefube wakutumbula ebyobulimi okusobola okunoonyeza abantu ba Beene obutale nokuzzaawo ebibiina byobwegassi era abantu nga Owek Kanyike baagala bafuuke emunyenyeso eri abalala kunsonga yebyenkulaakulana
Owek Kanyike awadde amagezi abagala okutandika nti tebatya kuggwa kubanga basobola okuyimuka kasita balemerako ate nebamanya kyebagala.
Owek Kanyike mubaka wa Lukiiko lwa Buganda era ye Ssentebe w’akakiiko k’ebyobulimi n’obulunzi mu lukiiko lwa Buganda.
Mu ngeri yeemu Owek Kakomo almbudde abavubuka abegattira mukibiina kya Uganda Alliance for Development e Nabbingo nga bano balunzi ba byennyanja, Owek Kakomo abasuubizza okubafunira bannamikago abasobola okubayambako mu mulimu gwabwe ogw’okulunda eby’ennyanja.
balambuddwa obwa Kabaka era owek Hajji Hamiisi Kakomo abasabye okubeera abagumikiriza nabasuubiza okubafunira bannamikago abasobola okubayambako mumulimu gwabwe ogwokulunda ebyenyanja.