Obwakabaka nga buyita mu kitongole kya Buganda Land Board buwaddeyo Ettaka lye Nakuule-Nansana eri aba Rotary Club ye Nansana okuzimbako eddwaliro okusobola okutuusa obujjanjabi eri abantu ba Kabaka mu bitundu ebyo n’ebiriraanyewo.
Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Minisita w’ebyensimbi Owek Robert Waggwa Nsibirwa, nga yakiikiridde Katikkiro, atemye evvuunike ly’okuzimba eddwaliro lino era abaddewo nga omujulizi nga Obwakabaka, Rotary Club ye Nansana, ne Munisipaali ye Nansana, bassa omukono ku ndagaano y’omukago gw’okuzimba eddwaliro lino.
Oweek Robert Waggwa Nsibirwa asabye abakulembeze ba Nansana Munisipaali wamu n’aba Rotary okunywerera ku kigendererwa ky’okufuna ettaka eky’okuzimbako eddwaliro, wabula bwebanaakyuusa ekirowoozo ekyo, ettaka lyakubajjibwako liddire Ssaabasajja Kabaka kubanga yeyasiimye libaweebwe okusobola okutumbula ebyobulamu mu Buganda.
Omukolo gwetabiddwako, Katikkiro w’Ekika kyengabi Constantino Mulyanga, Ssentebe wa District ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, Ssenkulu wa Buganda Land Board, Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Ronald Kawaddwa, Nanyini Ntebe ya Rotary Mukyala Rosette Nabbumb, banna Rotary n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
Eddwaliro lyakumalawo obuwumbi buna (4.8bn) nga lyakuteekebwako ekisenge omujjanjabirwa abakyala abembuto amakumi 40.
Gyebuvuddeko Obwakabaka bwatta omukago ne Rotary okukyuusa embeera z’abantu ba Buganda ne Uganda okutwalira awamu.