Obwakabaka buyimirizza okukungaanya ettoffaali

Obwakabaka bwayimiriza okukunganya ettoffaali omwaka guno kisobozese Katikkiro Charles Peter Mayiga okukola emirimo emirala egyali gy’etuumye mu woofiisi ye. Okuyimiriza okukungaanya ettoffaali kyakolebwa Katikkiro yenyini.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa akawungeezi ka ggyo, nga kiteekeddwako ssiginimmaaka Owek. Noah Kiyimba, omwogezi w’obwakabaka, kigamba nti “Katikkiro akola emirimu mingi okusobola okulamulirako Ssaabasajja Kabaka Obuganda obulungi ng’ennono bw’eri. Okukungaanya ettoffaali wadde nga kisobosezza Obuganda okutandikawo ebintu bingi, ssi gwe mulimo gwa Katikkiro omukulu oba sikyekyokka ky’alina okukola.

Ssaabasajja Kabaka teyalagira Katikkiro kuyimiriza Ettoffaali ng’amawulire  bwegabadde gabijweteka. Ssaabasajja Kabaka azze alambika bulungi Obuganda ku nkola y’ettoffaali emirundi mingi ng’abwazze assiima.

Kyakkiriganyiziddwa nti ettoffaali liddemu omwaka ogujja wadde ng’abantu ba Kabaka basobola okusigala nga bawayo ettoffaali mu kiseera kino. Kino kisoboka okolebwa ng’abantu bajja mu Bulange oba okuteeka ssente mu bbanka.

Ettoffaali y’emu ku nkola eyambye Buganda okudda ku ntikko. Ettoffaali lisobodde okuddabiriza Amasiro g’e Kasubi n’e Wamala. E Kasubi, bbugwe yazimbimbwa okwetotoloola yiika 64, abazaana bafuna ennyumba ennungi ddala mwe basula nga zirina n’ebiyigo eby’amazzi. Amasanyalaze g’enjuba gaaka ne ttanka y’amazzi ennene ddala w’eri.

Omulimo gw’okuzimba Muzibu Azaala Mpanga naggwo gutambula era tusubiira gujja kuggwa amangu ddala. Naye okuzzaawo Amasiro ssi mulimo mwangu ng’abamu bwebalowooza. Omulimo guno gulimu okwegendereeza kungi naddala ku nnono yaffe ng’Abaganda.

Ettoffaali lyatusobozesa okumaliriza ekisimbe Masengere n’okutekaawo Terefayina y’Obwakabaka wammu n’ebintu ebirala bingi.

Ettoffaali likunze abantu ne beegatta; obubaka Katikkiro bw’abatwalira bubayigiriza okukola, era abantu bazzeemu okulima ensuku ne mmwanyi; Ettoffaali libajjeemu okwekubagiza n’okubassaamu obumalirivu okuzimba Obuganda.

Ettoffaali likuganyizibwa mu nkola yabwerufu era ssente zonna tuzibuliira abantu mulujjudde. Tulaga abantu ssente nga bweziyingira ate nga bwezifuluma. Tulaga ne cheeke ezibuuka oba ssente zebatusubiiza ne tutazifuna. Tulaga bulungi ne ssente ezitugibwako bbanka olw’okukozesa akawunta zaabwe ne kalonda omulala mungi nnyo.

Ssaabasajja Kabaka Awangaale……nga n’enkumbi ku bbega.

Leave a Reply