Obwakabaka bwa Buganda bukoze endagaano ey’enkolagana ne minisitule ya
Uganda evunaanyizibwa ku nsonga za Uganda ebweru (foreign affairs) mu
kunyweza n’okutumbula enzirukanya y’emirimu mu kitongole ky’obwakabaka
eky’abagenyi n’emikolo mu kuyita mu kutendeka n’okubangula abaami
b’obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo awamu n’abaweereza mu bitongole
by’obwakabaka eby’enjawulo.
Ekigendererwa mu kino Kwe kulaba nti obwakabaka bwongera okwetereeza mu nteekateeka y’emikolo gy’obwakabaka ku by’abagenyi awamu n’okukuuma n’okunyweza ekitiibwa kya Namulondo n’obwakabaka mu Uganda n’ebweru wa Uganda.
Endagaano eteereddwako omukono Minisita w’amawulire, Abagenyi, Era
Omwogezi w’Obwakabaka,Oweek Noah Kiyimba, ate ku lwa minisitule
y’ensonga za Uganda ebweru, omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule
eno Amb. Patrick Mugoya yataddeko omukono.