Mu bubaka bwatisse Owek Rashid Nsubuga Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda akiikirira abantu ba Kabaka abawangaalira mu bitundu bye Bugisu, Katikkiro agambye nti,
(I quote)
” Amawulire g’okufa kwa Umukuka Sir Bob Mushikori gaatutuuseeko, kitalo nnyo.
Nga bwetumanyi nti ensi yaffe Uganda ekolebwa Obwakabaka obw’enjawulo omusibuka abantu ba Uganda. Mu buufu obwo abakulembeze ab’ennono bebajjayo obubonero obwoleka abantu bebakulembera.
Mu ngeri eyo obuwangwa n’ennono y’abagisu ebbanga lyonna ebadde yeyolekera mu Umukuka Mushikori kati omugenzi.
Nzijukira ennyaniriza ennungi nze n’ekibinja kyange okuva e Mengo, Katikkiro wa Umukuuka ne banne gyebaatulaga nga nkyadde ku Woofiisi za Umukuuka nga 9th August, 2014 bwetwali mu kaweefube w’e Ttoffaali mu bitundu bye buvanjuba.
Kituufu, omukago ne byafaayo bya Bugisu ne Buganda biviira ddala ku mulembe gwa Kabaka Kintu, era ebyaasa bingi ebiyiseewo.
Kulwa Gavumenti ya Kabaka, ne kulw’abantu ba Buganda, ne kulw’ange, ntuusa okusaasira kwange eri abantu ba Bugisu ne bannayuganda okutwaliza awamu, olw’okufa kwa Umukuuka Bob Mushikori.
Twebaza Katonda olw’ebirabo byeyawa omugenzi, era tumwebaza okumusobozesa okukulembera obulungi abantu be Bugisu ekyamuyamba okubagatta.
Tusaba Katonda agumye ab’enju ye, abamasaaba, n’abantu ba Bugisu.
Tusaba Katonda omwoyo gw’omugenzi agulamuze kisa. “
Ssaabasajja Kabaka Awangaale….ng’Enkumbi ku Bbega!
Charles Peter Mayiga
KATIKKIRO
30 January 2021.