Obwakabaka bwa Buganda butongozza ‘Endaga Bwami’ mu ssaza ly'e Buwekula okusobola okumalawo abantu abeeyita kye batali ne bavumaganya erinnya ly' Obwakabaka.
Bw'abadde atongoza Endaga Bwami (identity cards) Minisiita omubeezi owa Gavumenti ez'ebitundu Joseph Kawuki ategeezezza nti , kino bakikoze okusobola okwawula abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku bantu abalala n' okubasobozesa okweyanjula obulungi nga balina ebiwandiiko ebiboogerako.
Owek . Kawuki agasseeko nti kino kigenda kuyamba byansusso Obwakabaka bwa Buganda n'abantu ba Kabaka okumanya abantu abutuufu bebateekeddwa okukolagana nabo okusobola okumalawo bannakigwanyizi.
Ye omwami wa Ssaabasajja Kabaka owa Buwekula Luwekula Nantaayi Immaculate Kafeero aloopedde Minisita nga bwe basanze okusoomoozebwa okw'amaanyi olwa Abaami ba Ssaabasajja Kabaka abatalina we bakolera e Buwekula ekintu ekibalemesezza okukakkalabya emirimo gy' Obwakabaka.