Obwakabaka bwakujjayo n’ag’omubuto okulwanyisa abewangamya ku butaka bw’ebika.
Bino Owek Kyewalabye abyogeredde Kyaggwe bwabadde agenze okulambula Obutaka bw’ekika kye Ekibe e Wantaayi mu Kyaggwe.
Owek Kyewalabye agambye nti kyabulabe nnyo abatali bantu ba wano okulaba nti bebafungamye era bebakuuma ebifo by’obuwangwa babitugabanyizeeko, ng’obwakabaka tebajja kikkiriza era bajja kulwana okutuuka ku muzzukulu asembayo.
Omutaka Muyige alaze obweraliikirivu nagamba nti kati kirabika ebika biri mu buwambe, Obutaka busanyewo era n’abazzukulu tebakkirizibwa kugendayo. Asabye Obwakabaka bufeeyo okulaba nga embuga z’ebika zikuumibwa butiribiri. Agasseeko nti Buganda teyinza kudda ku ntikko ng’Ebika biri mu buwambe.
Ssenkulu wa Buganda Land Board, Simon Kabogoza ategeezezza nti abantu bangi bazze batyoboola ettaka ly’ebika naye Obwakabaka bunywevu era bagenda kukwatagana n’Abakulu b’Ebika okutaasa embuga z’ebika. Agambye nti ensonga z’ettaka ssi zabigambo wabula za biwandiiko ate ebituufu era ebituukiridde obulungi.
Mu kulambula kuno waliwo omusajja eyeyita Kayizzi naye nga amannya ge amatuufu ye Isabirye, avuddeyo nga agamba nti yennanyini ttaka era ayagadde okuleetawo akavuyo naye Owek Kyewalabye amusabye aleete empapula n’obukakafu obulaga nti yennanyini ttaka.