Olunaku lweggulo obwakabaka bwajaguzza olunaku lw’abakyala mu Buganda era nga entikko y’emikolo yabadde ku mbuga y’e Ssaza Buddu e Masaka.
Maama Nnabagereka yeyabadde omugenyi omukulu era nga yasoose kulambula emirimu egy’enjawulo egikolebwa abakyala mu maka gaabwe, omuli; enkola ya Amaka amalungi, Akaalo amatendo n’okweyimirizaawo. Amaka gano geyalambudde gasangibwa mu Gombolola ye Mukungwe.
Abakyala bayolesezza ebintu eby’enjawulo byebakola okusobola okufunamu ensimbi ez’okweyimirizaawo. Mu byebakola mulimu; okukamula omubissi okuva mu bibala eby’enjawulo, okukola eddagala eriva mu miti eminnansi (herbal) erijjanjaba endwadde eziwerako, okulima, n’okulunda.
Mu kwogerakwe, Nnabagereka akubirizza abakyala okukola ennyo, bave mu kulera engalo era bakomye n’okwenyoma kubanga emirimu gyebakola gyegiyimirizzaawo eggwanga.