Obwakabaka bwegasse ku Bannamawulire okukuza olunaku lwabwe

Obwakabaka bwegasse ku bannamawulire okukuza olunaku lw’eddembe lyabwe olubeerawo buli mwaka nga 3rd May.

Emikolo gy’omwaka guno gibadde ku kibangirizi kya Uganda Railway nga gutegekeddwa ekibiina ky’amawanga amagatte nga kiri wamu n’ebibiina ekitwala bannamawulire mu Uganda ekya Uganda Journalists Association.

Minisita w’amawulire mu bwakabaka,Noah Kiyimba, yakiikiridde Katikkiro. Mu bubaka bwamutisse, Katikkiro agambye kyandibadde kirungi abakuuma ddembe okukomya omuze gwokukuba ab’amawulire kubanga babeera bakola mulimu gwabwe ate n’ebyuma byebakozesa mu kusaka amawulire bya bbeeyi nnene era bisaana okukwatiba n’obwegendereza.
Owek Kiyimba agasseeko nti olunaku luno lusaana luyambeko mu kumanyisa obuvunaanyizibwa n’omulimu gwa bannamawulire era gusaana guteekebwemu ekitiibwa.

Minisita wa guno na guli mu woofiisi ya Prime Minisita wa Uganda, Hon. Mary Karooro Okurut nga yakiikiridde omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu, Hon. Jacob Oulanya, asabye bannamawulire okukozesa enkola y’okuteesa singa baba bafunyemu okusomoozebwa mu buweereza bwabwe oba bagende mu mbuga z’amateeka bafune obwenkanya.
Omulamwa gw’omwaka guno gubadde; “Media for Democracy, Journalism and Elections in Times of Disinformation”.

Leave a Reply