Omusango gwa John Patrick Amama Mbabazi gweyawawaabira Pulezidenti Museveni, Ssaabawolereza wa Gavumenti wamu n’akakiiko k’ebyokulonda gutandise leero okuwulirwa mu kooti ensukkulumu e Kololo mu Kampala.
Ba puliida b’enjuyi zonna wamu n’abalamuzi omwenda nga bakuliddwamu Ssaabalamuzi wa Yuganda Bart Katureebe basoose kwevumba kafubo okusunsulamu ebisinga obukulu mu musango guno.
Wabula leero omusango gwakusomwa oluvannyuma kooti eggyakuwa olunaku lw’enaawulira omusango guno mu bujjuvu.
Kinajjukirwa nti Mbabazi yawawaabira Pulezidenti Museveni n’akakiiko k’ebyokulonda olw’akalulu akataalimu mazima na bwenkanya.