Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Ssegiriinya olunaku olwaleero ategeezezza Kkooti Enkulu evunaana bakkalintalo nti alina ekirwadde kya kkookolo w’olususu wamu n’ekirwadde mu mawuggwe ebimubala embiriizi. Bino abitegeezezza Omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha olwaleero bwabadde agenzeeyo okuwulira omusango gwobutujju ogumuvunaanibwa ne Mubaka munne owa Makindye West Allan Ssewanyana, wamu n’abantu abalala 4 okuli; Jackson Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala, ne Mike Sserwadda nga kigambiwa nti benyigira mu kutilimbula abantu mu Disitulikiti y’e Masaka ne Lwengo mu 2021.
Omuwaabi wa Gavumenti Richard Brivumbuka asabye Kkooti okwongera Bannamateeka obudde obumala okukuŋŋaanya obujulizi obumala okuluma bano.
Ssegiriinya yebazizza Kkooti olwokumunguminkiriza bwatalabikako mu Kkooti emirundi 2. Ssegiriinya ategeezezza nti alina ne puleesa etera okulinnya netuuka mu 200 ku 140
Ssegirinya ategeezezza omulamuzi nti yalina okuddayo mu Ddwaliro e Netherlands nga 10-October 2023 ngera yali wakusigalayo wabula Bannamateeka be nebamuwabula akomewo e Uganda asobole okubeerawo mu Kkooti. Omulamuzi amwagalizza okussuuka obulungi era bwatyo Kkooti najongerayo okutuusa nga 24 Ocotber – 2023.