Munnamateeka w’Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP era Omubaka omukyala wa Kampala Hon. Shamim Malende; “Hon. Ssegiriinya Muhammad ne Hon. Allan Ssewanyana bamiddwa omukisa gwomusango gwabwe okubeera nga guwulirwa mu Kkooti ya ICD. Kino kitegeeza nti gwakuwulirwa mu Kkooti ya ICD mu Kampala ne Kkooti Enkulu e Masaka. Okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa kwa nga 3/10/2022, olwo nga 10/10/2022 baddemu okuwulira omusango gwebwe mu Kkooti eno ya ICD.”