Mu bbago ly’obufumbo erya Marriage Bill 2024 eryatwalibwa mu Palamenti nga 3-October ebiteeso bingi ebyeyolekeramu omuli;
1. Okubeera n’omuntu nga temuli mu bufumbo bwamateeka/ okwewasa mu butongole musango. Oyo omusango gwegusinga asasule engasi yabukadde 10 oba okusibwa emyaka 3.
2. Okwefuula n’okumenya ekisuubizo kyokuwasa omuntu musango. Ekibonerezo oliwa ensimbi oli zasaazanyizza.
3. Singa muba musazeewo okufimbiriganwa kulina kubeerawo mu bbanga lya myezi 6 bweremererwa buba busazibwamu.
4. Obufumbo obukoleddwa mu kkanisa oba ewa DC ngolina kuwasa mukyala omu busobola okukyuuka. Kino kitegeeza nti nabo abafumbiriganiddwa mu Kkanisa balina eddembe okuwasa omukyala omulala.
5. Obufumbo bwabaana abato tebukirizibwa, oyo yenna eyenyigira mu kutegeka oba nabeera wok u mukolo ogwo asibwa emyaka 10.
6. Okwawukana tekukirizibwa okutuusa nga mumaze omwaka 1 mu bufumbo.
7. Teri kukebera DNA z’abaana awatali kiragiro kya Kkooti.
8. Okuteekawo National Marriage Register okutereka ebikwata ku bantu abafumbo mu Uganda.