Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah yategeezezza Palamenti nga ensonga y’Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform bweyamutegeezebwako nga tebanakwatibwa nti era omumyuuka we yasisinkana ababaka bano bombi nayogerako nabo.
Sipiika yasuubizza okubakyalirako mu kkomera gyebali ayogereko nabo.
Wabula Sipiika yayongedde okukinogaanye nti okubeera Ababaka kibataasa kwebyo byokka byeboogerera mu Palamenti nga bateesa.
Era yayongeddeko nti tekitegeeza nti bwobeera omubaka tosoboka kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.