Okufa kwange tukujja kulemesa ba Spire balala kuvaayo – Dr. Jimmy Spire Ssentongo

Dr. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X; “Nkimanyiiko nti Palamenti ya Uganda munkukutu yasabye UCC ebikwata ku byempuliziganya yange era omulimu gwatandise okunoonya ani gwenjogera naye, biki byenjogera naye, ddi, wa, gyembeera, ddi lwensembayo okwogera nabo emisana n’ekiro n’ebirala. Muyinza n’okubaamu okwagala okuntuusaako obulabe.
UCC, musobola okukiriza okukozesebwa mu nteekateeka ezo enkyamu era ez’okwefaako, naye buli kyemukola nkimanyi kubanga waliwo abantu bangi mu mmwe eyo abatali basanyufu n’omulembe gye gututwala, era abasiima ensonga yaffe mu kusaba obuweereza obulungi n’obwerufu.
Basasula nabo emisolo era baagala obuweereza obulungi. Yadde nga Palamenti ne UCC etteeka liyinza okuba nga libawa obuyinza okusukuluma ku bantu bebalina okuba nga bakiikirira bebatatwala nga kikulu kati, naye olunaku lumu kiriba nebwoliba toliiwo. Kyanaku nti eno y’engeri gyebanukulamu okusaba kwabantu abaagala okubannyonyola ensaasanya ya ssenti y’omuwi w’omusolo bebagamba nti bakiikirira. Engeri gyetwatuuka ku mutendera guno ogwobutagambwako n’okunyigiriza Bannanasi kisaanye okutweralikiriza ffenna nga tetusinzidde ku kibiina kyabyabufuzi kyowagira. Enkola gyetuzimbye si yalubeerera era yabulabe nnyo eri ffe n’abaana baffe ssaako naabo abagiganyulwamu kati.
Osaabalira ku Ngo kati era ogitenda emisinde gyaayo, naye naawe ejjakukulya. Okuggyawo Spire oba omuntu omulala yenna avuddeyo okusaba okunnyonyolwa ku kintu ekikye ddala tekigenda kugonjoola kizibu kino. Nebwotta Spire leero, kigenda kukubisaamu ba Spire bawere n’okwongera n’obusungu. Ba Spire abansingako obusungu bajja kusituka okuwoolera.
Spire nebwasirika tekijja kumalawo busungu bweyongera mu bantu buli kadde nga buva ku malala, omulugube, okunyigiriza Bannansi, okwejalabye okususse nobutafaayo obususse. Mukole ku biruma Bannansi okusinga okwegatta okubaziba emimwa n’okubasaanyaawo.
Okufa kwange kijja kuba kikangabwa era kyanaku eri abo abanfaako nekwebyo byenkola, naye sijja kubaawo kukiwulira. Ffenna ku nsi tulina ebintu bibiri okuba abalamu oba abafu. Kaakati bwoba olonzeewo kukuba masasi owulire bulungi, tekyetaaga masasi mangi okuyimiriza omutima. UCC mubayambe okukwata emmundu. Nsuubira nti bingi ku byenali njagala okukola mbikoze. Ndi mugumu nnyo nti bangi bakukwata akati batandikirawo bakole bingi ebirala.
Tewali muntu yenna asobola kuyimiriza budde.”

Leave a Reply