Olunaku lwa jjo ababaka mu Palamenti baasazeewo okuyimiriza ku nnyingo ya 201b ey'etteeka erirunngamya okuteesa kwabwe mu Palamenti nebasalawo okuteesa ku bbago ly'etteeka ly'ekkomo ly'emyaka .
Ababaka ab'oludda oluvuganya Gavumenti era abawakanya eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bagezezzaako okusimba nakakongo ku nsonga eno nga baagala egobererwe olw'ensonga nti ewa ebbago ennaku ssatu okuteesebwako oluvannyuma lw'okuleetebwa mu Palamenti .
Wabula Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga yasanze akaseera akazibu okukkakkanya embeera nga ne mu kitundu ekisooka eky'okumakya yawaliriziddwa okugoba abamu ku babaka b'oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti era n'abagaana okudda mu lutuula lw'olweggulo.
Mu bano mwabaddemu : Omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda, Allan Ssewanyana, Mubarak Munyagwa, Gerald Karuhanga, Odur ne Akol.
Palamenti eddamu okutuula olwaleero ku ssaawa nnya.