OMUSANGO GWA KYAGULANYI TUKYAGUWULIRA; Kkooti Ensukulumu etandise okuwulira okwemulugunya okwateekebwayo Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Winenga awakanya ekyokulangirirwa kwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuwanguzi wa Kalulu k’omwaka 2021, era Munnamateeka we Medard Lubega Sseggona avuddeyo nategeeza Kkooti nga bwalina ebiragiro okuva ew’omuntu we okuteekayo okusaba kwe okuggyayo okwemulugunya kuno era kyakoze enkya yaleero nti era ne Attorney General amutegeezezza ku nsonga eno.
Wabula Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Doolo amutegeezezza nti kirungi Kyagulanyi akozesezza eddembe lye mu mateeka okuggyayo okwemulugunya kwe wabula bwasomye amateeka agafuga okuggyayo okwemulugunya ku kulonda kwa Pulezidenti gagamba nti omuwaabi ne Munnamateeka we balina okukuba ebirayiro wabula nga Munnamateeka Sseggona abadde tanaba nategeeza nti agenda kukikola olwaleero nga terunaziba.
Nti era ebbaluwa eno eggyayo okwemulugunya Registrar wa Kkooti alina okugiwaayo efulumizibwe mu Uganda Gazette olwo Kkooti eryoke eyite enjuyi zombi etandike okuwulira okusaba kuno ewe ensala yaayo nti naye ekyo bwekiba tekinakolebwa bakugenda mu maaso n’omusango.