Ebibiina okuva mu buddu bikiise embuga mu nkola ya luwalo lwaffe nebagula satifiketi za bukadde obusobye mu kkumi (10m)
Omumyuka wa katikkiro asooka era minisita wa ICT Dr. Twaha Kigongo Kaawaase yakoze omukolo gw’okubatikkula.
Owek kaawaase yebazizza abakulembeze okulaba nga bakwatiza wamu ne katikkiro okugoba obwavu mu bantu ba ssaabasajja nga batuukiriza ensonga ssemasonga ettaano obwakabaka zebutambulirako. Abeebazizza olw’okussa mu nkola ekiragiro kya kabaka eky’okwegattira mu bibiina by’obwegassi era abasabye okuba abeerufu bakozese ensimbi mu bintu ebiganyula abantu.
Minisita w’ensonga za Buganda ebweru, era omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki, ajjukizza nti balina omugabo mu nteekateeka z’obwakabaka n’olw’ekyo basaanye okuzenyigiramu.
Ebibiina ebikiise kuliko; mukisa group kimaanya, zibulaatudde, tusitukire wamu b kanoni, kikaluba sikitandikeko group b, tukolere wamu, ne basooka kwavula group b