Eyaliko Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte, Kofi Annan agamba nti ekiviiridde amawanga g’ Africa okuba amaavu lunkupe kwekukuumira abantu abakulu mu buyinza.
Kofi Annan okwogera bino asinzidde mu ggwanga lya Namibia mu lukungaana lwa World Changers Summit n’ategeeza nti Africa y’alibadde bulungi kubanga erina eby’obugagga bingi naye amawanga mangi agalina abakulembeze abakulu abasukka mu myaka nsanvu (70) abatakyalina nnyo kyebasuubirwa kukola .