Okulonda obukiiko bw’ebyalo kukyali mu lusuubo

Okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo okubadde kuteekeddwateekeddwa okubaayo ku ntandikwa y’omwaka guno kukyali mu lusuubo oluvannyuma lwa Minisitule y’ebyensimbi okwesuulirayo ogwa naggamba okufulumya ensimbi obuwumbi 15 mu obukadde lwenda ezeetaagisa okutambuza omulimu guno.

Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija okuva ssabbiiti ewedde agambibwa okuba nga azze yeebalama okulabikako mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti ne Gavumenti ez’ebitundu, ekireesewo okusika omuguwa wakati wa Palamenti ne Minisitule y’ebyensimbi  ku kalulu kano.

Minisitule y’ebyensimbi ekalambira nti yo yaakusobola kuteeka obuwumbi 10 mu kalulu kano, so nga ko akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti tezimala, keetaaga obuwumbi 15 mu obukadde lwenda.

Yo Palamenti ekalambira nti Minisitule y’ebyensimbi eweze ssente ezo nga bwezeetaagibwa akakiiko k’ebyokulonda.

Kinajjukirwa nti Yuganda tebadde nakulonda bukiiko bwa byalo okuva mu 2006.

Leave a Reply