Munnamateeka Eron Kiiza aleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti Enkulu ewozesa emisango egyannaggomola okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa. Kiiza ategeezezza Omulamuzi Micheal Elubu nti amaze enaku 76 ngasibiddwa mu kkomera e Kitalya mu ngeri emenya amateeka.
Awadde Kkooti abantu 3 bayagala bamweyimirire okuli; Mukyala we Syliva Tumwebaze, kizibwe we Dr. Busingye Kabumba ne mukwano gwe Prima Kawagala.
Kiiza awakanya ekibonerezo ekyokusibwa emyezi 9.
Omulamuzi Elubu awadde olwa nga 4 April lwanawa ensala ye.
Bya Christina Nabatanzi