Omukulembeze wa Yuganda Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeezezza nti omwaka 2026 wegunatuukira ng’okusoma mu Yuganda yonna ku mitendera gyonna kwa bwereere lyonna ku mitendera gyonna kujja kubeera kwa bwerere.
Ono agamba tewali kintu kimubobbya mutwe nga bannannyini masomero abagufude omugano ngogwenswa okwongeza ebisale by’amasomero ate nga n’agamu masomero ga Gavumenti ekintu ekizibuwaza eby’ensoma mu Ggwanga. Bino yabyogeredde mu Soroti East gyali mukunoonyeza akwatidde ekibiina kya National Resistance Movement – NRM bendera.