Okusunsulamu abayizi abagenda okusoma nsenvudde esooka kutandise enkya ya leero wali mu kibangiriza kya bannamakolero e Lugogo mu Kampala.
Amasomero agasinga okukola obulungi galinnyisizza obubonero era nga batwala abayizi abaafuna wakati w’obubonero buna n’omukaaga oluvannyuma lw’okuba nti abayizi baayita bulungi ebigezo bya P.L.E eby’omwaka oguwedde .
Omulimu guno og’okusunsulamu abayizi gwakukulungula enzingu bbiri nnambirira era nga gwetabiddwa abakulu b’amasomero okwetoloola eggwanga lyonna .