Okutambula kulaba – Zanzibar

Ekizinga Zanzibar kifumbekeddemu eby’obulambuzi eby’ebyafaayo era nga ekikulemberamu byonna ke katale gaggadde ak’abaddu  nga kaakati wano waazinbibwamu essinzizo gaggadde erya abakulisitaayo.

Ekifo kino nga kikyali katale ba baddu kyali kibangiriza ekyereere nga kyebunguluddwa obuyumba bw’obudongo . Wabula nga kyayawulwamu ebitundu bibiri, omuli awakuumirwanga abaddu (Slave Chambers) ate newebaatundirwanga (Slave Market).

Nabwekityo ekifo kyali bwekiti okutuusa nga ennaku z’omwezi 05 / Ssebaaseka 1873 okutunda abantu mu buddu lwekwayimirizibwa abazungu era nga kino kikomye, mu mwaka gwa 1874, Bishop Edward Steere n’atandika okuzimba essinzizo mu kifo kino nerituumimwa , THE CATHERAL CHURCH OF CHRIST  FORMER SLAVE TRADE SITE. Era wano Bishop Edward Steere weyaziikibwa emabega w’ekituuti nga ekijjukizo.

Ekifo kino  era kiriko akafo webaabumbira ebifaananyi by’abantu nga basibiddwamu enjegere okulaga engeri abaddu gyebaayisibwa ate ssi kyokka wabula n’okukuumirawo ebyafaayo abaliddawo basigale nga abalaba engeri abaddu gyabaatwalibwangamu nga basibiddwa enjegere .

 

Leave a Reply