Mu kaweefube w’Obwakabaka bwa Buganda ow’okutumbula ebitone mu baana, abayizi okuva mu masomero agenjawulo mu gwanga bawereddwa ebirabo oluvanyuma lw’okwetaba mu mpaka ez’okwolesa bitone, mu masomero agali mu Buganda, ezimanyiddwa nga “Buganda Royal Arts Shield Festival”.
Empaka zino zaaliwo mu mwezi ogwa Ssebaaseka, nga 16, 2022, nga zatambulira ku mulamwa ogugamba nti “Tufunvubire ,Tuzimbe ekkula lya Africa Omutali Mukenenya”.
Omukolo ogw’okukwasa abawanguzi ebirabo gwakoleddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, eyadde n’Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma, olunaku lwa ggyo ku Mapeera Secondary School, e Kisubi, Ntebe, Busiro.
Mu mpaka zino, amasomero gavuganya mu mazina, okuyimba, okutontoma wamu nebilala, era ng’omwaka guno abaavuganya baasoba mu 20. Ebirabo biweebwa abakutte ekifo ekisooka n’ekyokubiri ku mutendera ogwa Pulayimale ne Ssekondale.
Esomero lya St. Andrew Kaggwa Gombe High School, awamu ne lya St Paul Mugwanya Complex, ge gakutte ekyookubiri ate essomero lya Kitende Modern Primary School, wamu ne lya Mapeera Secondary negakwata ekisooka.
Abawanguzi baawereddwa engabo wamu ne kavu w’ensimbi w’akakadde kamu n’ekitundu abaakutte ekisooka so nga abaakutte ekyokubiri baaweereddwa akakadde kamu.
Bwe yabadde abakwasa ebirabo byabwe, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, yasabye abazadde okunnyikiza omulamwa gw’okulwanyisa mukenenya, nga ba buulirira abaana baabwe.
Yeebaziza nnyo abakulu b’amasomero abasobode okutegeka abaana baabwe obulungi ennyo, awamu n’okubaagazisa ebyemizanyyo n’enyimba.
Ye Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma akuutidde abayizi obutakoma ku bye basoma mu kibiina byokka, wabula beenyigire ne mu byemizannyo n’ebyemikono, okusobola okuvuganya mu nsi kati weetuuse.
Mw. Damulira Joseph nga y’akulira esomero lya Mapeera SS, agambye nti esomero lyabwe terizanyisa bitone by’abaana nga ne mu kiseera kya COVID19, abaana abaasigala ku somero baabatandisa kwenyigira mu byamizanyo n’okuyimba, ekibayambye ennyo okuwangula.