Okuwozesa Kitatta kwa mwezi gujja – Kkooti

Kooti y'ekinnamagye e Makindye etaddewo nga 23 Kafuumuulampawu 2018 nga lwegenda okutandika okuwozesa omuyima w'ekibiina ky'abagoba ba Bodaboda ekya Bodaboda 2010.

Kitatta n'abantu abalala kkuminoomu bavunaanibwa emisango mukaaga omuli okuba n'ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka, okuba n'ebyokulwanyisa by'ekinnamagye wamu n'ebyambalo byakwo ekimenya amateeka.

Kkooti eno okuteekawo olunaku lw'okuwozesa Kitatta kiddiridde omuwaabi omukulu mu musango guno Maj. Raphael Mugisha okutegeeza kkooti nti CMI emalirizza okukola okunoonyereza okumala era kati neeteefuteefu okuleeta abajulizi mu maaso ga kkooti okulumiriza Kitatta ne banne.

Kitatta ye nga omu avunaanibwa emisango etaano omuli ogw'okuba  n'emmundu kika kya SMG , okuba ne Pisito ssatu (3) n'amasasi amakumi ataano ng'asangibwa nabyo alina kuba wa magye yekka.

Wabula bbo abalala bavunaanibwa gwa kwekobaana ne Kitatta nebafuna eby'okulwanyisa by'ekinnamagye bino byebaasangibwa nabyo mu mmotoka ku Hotel ya Vine Tea e Wakaliga mu Kampala

Kitatta azziddwayo mu kkomera lya Military Police e Makindye ate banne nebazzibwayo e Luzira.

 

Leave a Reply