Kkooti eyongezzaayo okuwa ensala yaayo ku musango gw’amabaati oguvunaanibwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Dr. Mary Goretti Kitutu okutuusa nga 10 – November 2023.
Kino kikoleddwa okuwa Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi obudde obumala okwekeneenya wamu n’okutangaaza ku kya Minisita Kitutu kyeyavaayo nategeeza nti oludda oluwaabi terwaleeta bujulizi obwetaagisa okwewozaako ng’amateeka bwegakirambika.
Okuwulira ogwokubba amabaati oguvunaanibwa Minisita Kitutu gwongezeddwayo
