Okuzimba enguudo ez’enjawulo mu Democratic Republic of the Congo(DRC) kutandika wiiki ejja. Omwaka oguwedde Gavumenti ya Yuganda yateeka omukono ku ndagaano neginnewaayo eya DRC okukolera awamu okuzimba enguudo ezigatta amawanga gano gombiriri ez’omugaso.
Palamenti ya Yuganda mu mwezi gwe kkumi yayisa ensimbi obuwumbi 20 okuyambako okuzimba enguudo eziwereza ddala kiromita 1000.
DOTT SERVICES LIMITED ye kkampuni eyakwasiddwa omulimu gw’okuzimba enguudo zino. Bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Anne Kyambadde
yategeezezza nti enguudo zino zakuyambako okuggyawo emiziziko mu byentambula wakati w’amawanga gombiriri olwo kitumbule ebyesubulagana.
Enguudo zino kuliko; Budiba Bridge ku mugga Semuliki ne Rwebisengo-Budiba-Bunia Access Road (78Km), Mpondwe/Kasindi-Beni Road (77km), Nebbi-Goli-Bunia Road (197km), Goma-Rutshuru-Bunagana Road (100km) ne Bukavu-Goma-Butembo-Beni-Bunia Corridor (758km).
Okusinziira ku ndagaano eyakolebwa wakati w’amawanga gombiriri, Yuganda yakuwaayo ebitndu 20 ku 100, era nga omulimu guno gusuubirwa okuwementta obukadde bwa ddoola 334.5.