Gavumenti ya Yuganda n’eya Tanzania zitongozza enteekateeka kakobogo eno nga yeegenda okuyamba okutambuza amafuta agatali makenenule okuva mu Yuganda mu bitundu eby’e Hoima olwo goolekere e Tanga mu Tanzania.
Eno gyeganaalongosezebwangamuko olwo galyoketgafunirwe akatale.
Okuzimba omudumu guno ogugenda okuwemmenta kiromita 1443, gusuubirwa okuyandika gyebuggyako ku nkomerero y’omwaka guno era nga byonna ebigenda okwetaagisa bimaze okusomebwa.
Omudumu guno okugenda e Tanzania gugenda kuva mu kiwonvu okumpi n’ennyanja Muttanzige awali amafuta mu Disitulikiti ey’e Hoima , olwo gulyoke guyite mu zidiisitulikiti munaana omuli; ey’e Kyankwanzi, Kibaale, Mubende, Rakai, Lwengo, Gomba ne Ssembabule , gulyoke gwolekere e Tanzania.
Minisita Irene Mulono avunaayizibwa ku by’obugagga ebyomuttaka n’ensibo agamba nti baagala amafuta gatandike okusimibwa mu 2020 era bwatyo n’abaguliza ku bannayuganda nti emirimu gisonze.