Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega agamba nti okuzza Buganda ku ntikko ssi mulimu mutono era ssi kusiiga bizimbe kyokka wabula mulimu munene.
Agamba nti abantu balina okuba n’ebyobulamu ebitegeerekeka, sikuddira butimba bwa nsiri kubuvubisa byenyanja, emmere ebamala nga balya nebakkuta.
Ayongerako nti ye tagenda kutiitiibya bannabyabufuzi abatayagala bya buwangwa bwa Buganda era buli abiwagira waddembe okugenda e Mengo okuwandibwako eddusu.
Bino yabyogeredde mu Bulange e Mengo mu nsisinkanoye eri abazaana n’abasajja ba Kabaka mu luwalo lw’amasaza.