9 june 2019
“kansooke n’okusaasira ennyo bannaffe mwenna olw’ettemu erituusiddwa ku bantu baffe naddala wano mu Buddu. Ettemu lino litandise okusaasaanira ebitundu bya Buganda ebitali bimu nga bikolebwa abantu abalumba ekiro n’amajambiya ate oluusi nga bamala n’okusaasaanya ebibaluwa ebiraga ebyalo n’okulabula abantu bebagenda okulumba.
Tunakuwala nnyo olwebikolwa nga bino ebirabika nti tebiriiko bantu bagoberera okutangira ensonga eyo. Awonno netwebuuza lwaki abatemu bano tebakwatibwa nebavunaanibwa, tuwulira nti abatemu batambulira mu motoka ate nga bamaze n’okulaalika nti bajja.
Ekibuuzo eky’okubiri, lwaki ebitundu ng’ebyo tebiweebwa obukuumi obumala, abavunaanyizibwa nga bamaze okutegeera nti abatemu abo bali mu kkubo bajja.
Era wano kyetuva tusaba abakulembeze okufaayo ku kwerinda kw’ebitundu byaffe n’obutamala gagabira bantu mundu okujjako nga balina ebisaanyizo.
Ensonga endala enkulu nze gyempulidde ku radio n’okusoma mu mpapula z’amawulire, y’ensonga ekwata ku ntegeka emaze okuyisibwa nga eraga town ezimu ezigenda okufuulibwa ebibuga ebinene, twewuunya nnyo okulaba nga ekibuga kyaffe Masaka ekirina ebisaanyizo byonna tekyalabibwa ku nteekateeka esooka ey’okuzimba ebibuga. Nsuubira nti bwenaaba nfunye akaseera njakunoonyayo ku bakugu abamanyi okukola pulaani z’ebibuga bantegeeze lwaki ekintu ekyo kyakolebwa kubanga nze kinnemye okutegeera.
Omulabirizi katumba ayogedde ku mugenyi waffe, yabadde yebuuza ku lubiri lw’e lukunyu n’empuku. Ekifo ekyo kyabyafaayo nnyo era nze kennyni nayitayo ekifo ekyo n’enkirambula. Era njagala munaffe reverend teefe abeera mugumu nti ekifo ekyo tujja ku kiddaabiriza era kifuuke ekifo eky’obulambuzi eri abo bonna abaagala okugendayo.
Nga maliriza njagala okuddamu okwebaza abo bonna abategese okulambula kuno kwetutandise. Njagala okuddamu okwebaza omulabirizi ne banne abatukulembedde mu kusaba okwa leero.”