Tubaanirizza mwenna abazze ku mukolo ogwa leero, tuyozayoza speaker w’olukiiko luno omuggya owekitiibwa patrick mugumbule olw’okulondebwa era tumwagaliza okukola obulungi. Twebaza nnyo owekitiibwa nelson kawalya abadde speaker olw’okukubiriza obulungi olukiiko okumala emyaka mukaaga era tumwagaliza obulamu obulungi. Mu ngeri yeemu tuyozayoza baminisita abazzeemu okulondebwa era nebakwasibwa obuvunaanyizibwa obusinga kwobwo bwebabadde nabwo, era nabo tubaagaliza obuweereza obulungi.
Tuddamu nate okwebaza baminisita abaawummula emirimu gyebakolera obwakabaka okumala emyaka mukaaga, bannaffe beebale nnyo beebalire ddala.
Olwa leero nina ensonga nnya ez’okwogerako;
1. Twebaza nnyo abateesiteesi b’emikolo egy’amatikkira aomwaka guno, emikolo gyali mirungi nnyo era gyatusanyusa nnyo, mwebale nnyo mwebalire ddala.
2. Twebaza abakulu b’ebika eyo gyetwalambula obutaka, baatwaniriza bulungi era twayiga bingi ebikwata ku butaka obwo era tubeebaza nnyo. Ekigendererwa mu kulambula kuno, kwekumanya embeera obutaka gyebulimu era n’okulaba engeri obwakabaka gyebuyinza okuyamba mu kulaakulanya obutaka obw’abantu baffe. Obutaka gyetutannatuuka tusuubira okugendayo gyebujja awo mu maaso era kirungi bannaffe abo batandike okweteekateeka. Tukubiriza abazzukulu bakwatizeeko ku bajjajja baabwe ku nsonga eyo enkulu ey’okuteekateeka okulambula okwo.
3. Tuddamu okubagamba obukulu bw’obwegassi mu mirimu gyaffe, era n’okwongera okulima emmwanyi awamu n’ebirime ebirala eby’ettunzi.
4. Twebaza nnyo bannaffe aba buganda heritage association ekitongole ekiri e bungereza, abaakola enteekateeka ekipande ekitongole nekiteekebwa ku nnyumba ssekabaka muteesa ii weyasulanga okuva mu april 1968 okutuusa weyakisa omukono mu november 1969. Bannaffe abo baakola ekintu kikulu nnyo era kisaanidde abantu baffe abakyalako e bungereza nabo baweyo akaseera okukyalira ekifo ekyo balabe embeera ssekabaka gyeyayitamu. Ekirowoozo eky’okuteeka ekipande ekyo ekitongole ku nnyumba eyo kyaleetebwa omubaka wa kabaka e bungereza owek ronald lutaya, awamu n’omwami bosco nnyombi n’omukyala ann nannyonga, oluvannyuma beegattibwako abaami, ssempiira kasozi, micheal kiggundu, steven kafero, william nkata ne richard kigula, abo bonna nga bali mu kitongole kya buganda cultural heritage association e bungereza. Abayima b’ekibiina ekyo be bannaalinya elizabeth nakabiri ssengaaga, omwami edward lubega, n’omukyala nantimba ddamulira, ssaava yiga matovu ne nnaalinnya kagere, nabo baayamba nnyo okutambuza omulimu ogwo.
Mbasaba, era tubaagaliza okuteesa obulungi mu lukiiko olujja era olukiiko ndugguddewo.