Poliisi y’ebidduka evuddeyo nerabula abebidduka abakozesa oluguudo lwa Mubende – Kassanda oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba, oluguudo luno luseerera nnyo e Kalongo. Musabiddwa okukozesa enguudo endala.
Abava e Kampala okudda e Mubende: mukozese Hoima Road okudda e Kiboga – Kakumiro okudda e Mubende (Nabakomawo), abadda e Fort Portal mweyongereyo Hoima, Kagadi – Kyenjojo okutuuka e Fort Portal.
Uganda Police Force ngekolera wamu ne Uganda National Roads Authority – UNRA batuuse dda mu kifo okulaba engeri gyebatereezaamu embeera.