Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Olwa leero Olukiiko lwa Buganda lutudde omulundi ogusoose mu lutuula luno olwa 31. Essira tulitadde ku kwogera kwa Ssaabasajja Kabaka bwe yali aggulawo Olukiiko luno wiiki ewedde.
Olukiiko lusabye Bajjajja Abataka abakulu ab’obusolya okufuna okulambikibwa okuva ewa Ssaabasajja nga tebanabaako nsonga zonna zaakwekulaakulanya ze beenyigiramu wamu n’okulaba nga Ssaabataka abalung’amya ku nsonga zonna ez’Olukiiko lw’Abataka.
Olukiiko lwe bazizza Kabaka olw’akaweefube gwa kulembeddemu mu myaka 30 ow’okuzza Buganda ku ntikko, omuli okutumbula eby’obulamu, okutumbula eby’obulimi, n’omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu obwabulijjo.
Olukiiko lusembye nti ensonga enkulu ennyo mu kwogera kwa Ssaabasajja Kabaka zongere okuteesebwako mu bukiiko bw’olukiiko obw’enjawulo.
Olukiiko lwe bazizza nnyo Kabaka olw’okulonda baminisita abaggya mu Bwakabaka bwa Buganda, era lwe bazizza nnyo abawummudde olw’ettofaali lye batedde ku kaweefube ow’okuzza Buganda ku ntikko.”