Ssaabasumba Paul Ssemogerere atenderezza nnyo omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyali Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala olw’enjigiriza eyali ennungi, omukozi ennyo eyakwata ku bulamu bw’abantu ab’enjawulo.
Okwogera bino abadde Kyaggwe mu kwabya olumbe lwe ng’omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wassajja n’Omuzaana, Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omukyala n’abantu abalala bangi ddala.