Nga ensi yonna olwaleero eri mu kujaganya olunaku lwa Valentine era nga bangi balaga bannaabwe omukwano , Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’okukwasisa empisa wamu n’enkola y’ebintu ey’ekintu kiramu wano mu ggwanga, Dr. Fr . Simon Lokodo agamba nti ebyembi wano mu Yuganda abantu olunaku luno baalufuula lwa kwegadangirako na kwerigomba, n’agamba nti kino kaakati abantu abasinga obungi kyebayaayaanira so nga ate ssi gwe mulamwa gw’olunaku luno omukulu.
Faaza Lokodo abadde abuulirako bannamawulire, n’agamba nti omulamwa gw’olunaku luno, be bantu okulaga okwagala kwabwe naye ate eri bannayuganda , olunaku luno baalufuula lwa kukabawaza bantu ,buseegu n’ebirala ebigwa mu kkoowe eryo n’agamba nti ssi gwemulamwa omukulu.
Bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku Media centre mu Kampala .
Faaza Lokodo era olunaku olwaleero otongozza eby’olunaku olw’okujjukira okuttibwa kwa eyali Ssaabalabirizi wa Uganda Janani Luwum nga era nabyo bibadde mu kifo kyekimu nga emikolo gy’olunaku luno gigenda kubaayo lunaku Lwakuna nga 16, Mukutulansanja e Michuni mu Disitulikiti y’e Kitgum.